Indirimbo ya 240 mu CATHOLIC LUGANDA
240. KA TULAMAGE FFENNA
Ekidd: | |
: Ka tulamage ffenna ab’oluganda …. ffenna B’alyoye ka tulamage abazira. Tudda wa Kitaffe ka tulamage ffenna …. Ffenna ab’oluganda ka tulamage ffenna. Yezu anaatutuusa mu Yeruzalemu Omuggya … Ffenna tuli mu lugendo. Tutambule. (Tutti) Tutambuza maanyi na buyinza, Tutambula masajja tuli n’Oyo. Eyawangula sitaani n’amumegga Eyawangula olumbe nnamuzisa Naffe n’atukakasa nti: anzikiriza ndimuzuukiza, Nze Kkubo nze Mazima nze Bulamu. Kristu ffenna b’oyise (n’ono gw’oyise) tutuuse gy’obeera Kristu ffe nno abakulindirira Tutuuse mu kitiibwa kyo eky’olubeerera. | |
1. | 1. Obulamu bw‟ensi buyita kapaalo, Buli nga omuddo ogw‟oku ttale, Kyokka bwa muwendo: mu bwo, Mwe tukolera ebirungi, Katonda kw‟ayima, N‟atuwa empeera. Anti yasuubiza nti: Buli ampeereza, Kitange alimuwa ekitiibwa, Nange we ntudde naye w‟alituula. |
2. | 2. Obulamu bw‟ensi butudyekadyeka, Buli nga roza ey‟oku ttale, Kyokka bwa muwendo; mu bwo, Mwe tufunira obugagga, Katonda kw‟ayima, N‟atusukkulumya. Nga bwe yasuubiza nti: “Buli ampeereza Kitange alimuwa ekitiibwa, Kumpi we ntudde, naye w‟alituula. |
3. | 3. Obulungi bw‟ensi butulimbalimba, Buli nga mmambya lw‟anaasala, Kyokka bwa muwendo, mu bwo, Mwe tulabira ebirungi, Omutonzi w‟eggulu by‟atuwa abantu, Nga bwe yasuubiza nti: Buli ampeereza, Kitange alimuwa ekitiibwa, Nange we ntudde naye w‟alituula. |
4. | 4. Obugagga bw‟ensi butusendasenda, Bulinga omuddo ogw‟oku ttale, Kyokka tumanye nti: mu bwo Mwe tuyigira okutoola, kuyaba abalumwa N‟oddiza Katonda, nga bwe yasuubiza nti: Buli ampeereza, Kitange alimuwa ekitiibwa, Nange we ntudde naye w‟alituula. |
5. | 5. Obulumi bw‟ensi nga butukuza nnyo, Tuba nga zaabu bw‟ayokebwa, nabwo muwendo, Mu bwo, mwe tufunira ebirungi, Katonda kw‟ayima N‟atuwa empeera, nga bwe yasuubiza nti: Buli ampeereza, Kitange alimuwa ekitiibwa, Nange we ntudde naye w‟alituula. |
By: Fr. James Kabuye |