Indirimbo ya 242 mu CATHOLIC LUGANDA

242. MUGENDE MIREMBE


Ekidd:
: Mugende mirembe Omukama
Abakuume mirembe,
Mugende mirembe mmwe,
Mukama abakuume ntende.
1.1. Mugende mu linnya lya Patri Katonda,
Mugende mu linnya lya Yezu Katonda
Mugende ku bwa Mwoyo Mutukuvu abakulembere,
Mube mirembe mu maka gammwe mube mirembe
Mu bye mukola yonna mutwaleyo Yezu Kristu.
2.2. Mugende mu linnya lya Patri Omutonzi,
Mugende mu linnya lya Yezu Katonda,
Mugende ku bwa Mwoyo Mutukuvu Omukubagiza,
Mube mirembe mu kutegana, mube mirembe
Mu kupakasa yonna mubeereyo ng‟Abatume.
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 242 mu Catholic luganda