Indirimbo ya 245 mu CATHOLIC LUGANDA
245. NJA KUNYWERERA KU YEZU
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Nja kunywerera ku Yezu nze gwe nnalondawo, Luliba lumu ne nngenda n’ampeera. |
2. | 1. Ka nsimbe mu luwenda olw’Abatuukirivu, Nange ngobe ku mwalo oguli eri ogw‟emirembe. |
3. | 2. Abatuukirivu mu nsi yabanneegombya, Mpulira eddoboozi nange nga limpita okugenda. |
4. | 3. Baagenda nga bakaaba nga bagenda okusiga, Kyokka mu makungula baakomawo bayimba. |
5. | 4. Abaamujulira abo yabawunda, N‟abasembeza oyo Yezu eri Kitaawe. |
By: |