Indirimbo ya 246 mu CATHOLIC LUGANDA
246. OMUKAMA OKUVA KATI
1. | (Fr. Vincent Bakkabulindi) Ekidd.: Omukama okuva kati Kye kitundu ky’obusika bwange N’ekikompe kyange. x2 |
2. | 1. Ayi Katonda, nkuuma nze addukidde gy‟oli Nngamba Omukama nti: Ggwe Mukama wange! Wotoli mpaawo kirungi Wotoli mpaawo kirungi kye mba nakyo. x2 |
3. | 2. Abatuukirivu mu nsi nga yabanneegombya! Sirina Katonda mulala nze gwe ngoberera Balubaale abo bongera ennaku Ssetabe, ssetabe nnyini mu kutambira abo. x2 |
4. | 3. Gwe ngulumiza Omukama y‟ansalira amagezi Ne bwe buba ekiro omutima gumbuulirira. Gwe nsinza, tanva mu maaso Andi ku gwa ddyo, sijja kunyeenya, nze ndi naye. x2 |
By: |