Indirimbo ya 250 mu CATHOLIC LUGANDA
250. AMAWANGA GONNA
Ekidd: | |
: Amawanga gonna gakunngaanye, Okusinza Yezu Kabaka; Obuganda nabwo bumulonze Abeeremu ddala Mukama. | |
1. | 1. Emirembe nga teginnasooka, Mwana wa Patri Nnyini-ggulu Yaliwo Kabaka, ye Katonda, Omuyinza wa buli kantu. |
2. | 2. Eggulu n‟ensi ye yabitonda, Byonna bikwata amateeka ge, Mu bantu, abamu bakyagaana: Yezu ow‟ekisa abawangule. |
3. | 3. Ku Musaalaba, ku Kalvario, Yezu yatufiirira ffenna; N‟afuuka bw‟atyo nnanyini myoyo, Olw‟okuginunula gyonna. |
By: W.F. |