Indirimbo ya 251 mu CATHOLIC LUGANDA
251. ATENDEREZEBWE OMUKAMA
1. | (Fr. Gerald Mukwaya) Ekidd.: Atenderezebwe Omukama, atenderezebwe Omukama Katonda w’amagye Atenderezebwe Omukama, agulumizibwe Omutonzi w’eggulu n’ensi. |
2. | 1. Mu Kiggwa kye Ekitukuvu Tumutende Mu ddoboozi ery‟entongooli Tumutende Mu nngoma ezo ne mu nnyimba Tumutende Mu ngoye envuzi n‟amadinda . Tumutende |
3. | 2. Ku makya bwe tugolokoka Tumutende Mu mirimu egya buli ngeri Tumutende Mu nngendo eza buli ngeri Tumutende Ekiro bwe twebaka otulo. Tumutende |
4. | 3. Mu Kitambiro Ekitukuvu Tumutende Mu ssaala eza buli ngeri Tumutende Mu ssanyu nga tusagambiza Tumutende Mu nnaku bwe tunakuwala. Tumutende |
5. | 4. Bassabamalayika eyo mu ggulu Bamutende Bamalayika eyo mu ggulu Bamutende Abatuukirivu aba buli ngeri Bamutende Bannamukisa Abajulizi. Bamutende |
6. | 5. Ebinyonyi eby‟omu bbanga Bimutende Ebyewalula n‟ebiwuka Bimutende Ebisolo eby‟eyo mu nsiko Bimutende Ebyennyanja n‟ennyanja. Bimutende |
7. | 6. Ebinene ebyaka waggulu Bimutende Amasozi n‟emitendera Bimutende Ebimuli ebya buli ngeri Bimutende Ebitonde byonna eby‟ensi. Bimutende |
8. | ` 7. Ffe nga tukyali ku nsi kuno Tumutende Ne bwe tuligenda mu ggulu Tumutende Emirembe gyonna mu ggulu Tumutende Twesiime naye lubeerera. Tumutende |
By: |