Indirimbo ya 253 mu CATHOLIC LUGANDA
253. GGWE KABAKA
Ekidd: | |
: Ggwe Kabaka Omutonzi w’abantu, Ggwe Kabaka w’ensi zonna ddala! Ggwe Kabaka! Anti tolemwa kantu, Ggwe Kabaka ! Wonna Ggwe otufuga! Ggwe Kabaka! Ggwe Kabaka! Ggwe Kabaka. | |
1. | 1. Yezu Omutiibwa Ggwe Kabaka waffe, Ka tukusinze kuba watutonda, Tulikutenda kuba Ggwe walonda, Okuba naffe, okuba naffe. |
2. | 2. Yezu Omuyinza, Ggwe Kabaka waffe, Twali mu buddu, sitaani omujeemu Nga y‟atutwala n‟ojja n‟otuzzaamu Eddembe lyaffe, eddembe lyaffe. |
3. | 3. Yezu Omulungi Ggwe Kabaka waffe, Byonna by‟osiima tujja kubituusa Bamanye bonna nga bwe tutakuusa Mu mpisa zaffe, mu mpisa zaffe. |
4. | 4. Yezu Omuteefu, Ggwe Kabaka waffe, Tukwesigenga, mbeera watugamba, Mu ntalo z‟ensi bulijjo okuyamba Emyoyo gyaffe, emyoyo gyaffe. |
5. | 5. Ggwe Yezu waffe, beera empeera yaffe, Oba twegomba nno okubeera naawe, Ka ebibi byaffe byonna tubikyawe Katonda waffe, Katonda waffe. |
By: W.F. |