Indirimbo ya 254 mu CATHOLIC LUGANDA
254. GGWE KABAKA GGWE MUKAMA
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ggwe Kabaka Ggwe Mukama atutwala, buli kitonde kyonna kifukaamirira erinnya lyo. Yezu ………… Kabaka Kristu ……….. Mukama Tuli babo Ggwe Kabaka waffe … (laba tuli babo Mukama Ggwe otutwala) |
2. | 1. Ggwe afuga buli Kitonde kyonna mu ggulu ne mu nsi Oli wa kitiibwa wonna … osaana otendebwe Obwakabaka bwo Mukama …. bwa lubeerera Ebitonde byonna Ggwe obitwala. |
3. | 2. Obwakabaka bwo Mukama …… bwa mazima n‟obulamu Obubwo obwakabaka …bwa mazima era bwa kwagalana era bwa mirembe. |
4. | 3. Tuyambe tukolerere emirembe twongere obwakabaka bwo Tuyambe tukolerere amazima twongere obwakabaka bwo Tuyambe tukolerere okwagalana tubeere mu bwakabaka bwo. |
5. | 4. Yezu oli Kabaka nkwaniriza n‟omutima gwonna nkwagala Ggwe maanyi gange, bulamu bwange, ssuubi lyange Ggwe ampanirira – Mukama wange nkwagala. |
By: |