Indirimbo ya 256 mu CATHOLIC LUGANDA

256. KABAKA W’EGGULU


1.1. Kabaka ow‟eggulu n‟ensi zonna,
2.2. Mu nsangi ezaayita mu nsi muno
Mukama Ggwe ow‟obuyinza, Nga tibakumanyi n‟akamu:
Ye Ggwe gwe tusenga n‟obuzira, Era ne balemwa amateeka go
Gwe twerondedde, gwe tusinza. N‟empisa ez‟eddiini ennamu.
Twayingira dda mu busenze buno Kabaka omutiibwa, tukwebazizza
Tubunywereremu, Ku lw‟okutuwonya
Titujja kuvaamu Mu kwebonyaabonya,
Tufugenga! Mu kufa kwo.
3.3. Enkande ey‟ensi y‟obukafiiri
Leero nga ye nnimiro ddala,
Emulisizza ebyobujulizi
Ate ebyobubiikira byanya.
Ayi Kristu Mukama gwe twesingira,
Okuume, obutaka
Bukuume, Kabaka,
Mu ddiini yo!
By: M.H.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 256 mu Catholic luganda