Indirimbo ya 257 mu CATHOLIC LUGANDA
257. KRISTU FUGA
Ekidd: | |
Kristu, Kristu fuga, Kristu, Kristu, Kristu lamula. | |
1. | 1. Omukama yagamba Mukama wange nti: tuula ku Gwa ddyo omukono gwange. |
2. | 2. Omukama alisinziira mu Sioni n‟abunya ddamula w‟obuyinza Bwe obwo Ggwe fuga mu balabe bo wakati. |
3. | 3. Obukungu bubwo okuviira ddala ku lunaku lwe wasituka Mu kwakaayakana kw‟Abatuukirivu; nnakuzaala ne mmambya Tannasala kyenkana ng‟omusulo. |
4. | 4. Omukama yalayira era tagenda kwejjusa; Ggwe oli musaserdooti emirembe gyonna, mu lubu olwa Melkisedeki. |
5. | 5. Omukama akuli ku ddyo wo Ggwe; bw‟alisunguwala Alivunjaga Bakabaka. |
By: Ps.) |