Indirimbo ya 258 mu CATHOLIC LUGANDA
258. KRISTU LYE SSUUBI LYANGE
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd. Kristu; Kristu; Kristu; lye ssuubi lyange eritagooka, Kristu, Kristu gwe musingi kwe nnyweredde, Nnazimbibwa ku ye tanjabulira, Y’ampanguza abalabe abannumba Kristu, Kristu, Kristu lye ssuubi lyange, Kristu, Kristu lye ssuubi lyange ery’olubeerera. |
2. | 1. Mu bizibu by‟ensi mugumanga, ndi nammwe emirembe gyonna, Nze Katonda wammwe atabasuula, atabakiiya, Musabe muliweebwa kyonna kye munaasaba nga mukkiriza Mulikifuna, ku luuyi lwange … Byonna bisoboka ku luuyi lwange … Byonna bisoboka. |
3. | 2. Obugagga bw‟ensi butulimba, buli awo tebusimba bwonna, Mwesige mmwe byokka ebitafuuka eby‟omuwendo. Musabe muliweebwa …. |
4. | 3. Emikwano gy‟ensi gitulimba, giri awo gya kuleka gyonna Mwesige mmwe yekka atabasuula, atabakiiya, Musabe muliweebwa … |
5. | 4. Ebirungi by‟ensi bitulimba, tobyewa bya kuleka byonna Weesigenga yekka ow‟obuyinza n‟obutuufu. Musabe muliweebwa … |
By: |