Indirimbo ya 259 mu CATHOLIC LUGANDA
259. KRISTU SSABAVUBUKA
Ekidd: | |
Kristu Yezu, Ssabavubuka w’ensi yonna, Tukwanirizza, tukukkiriza Kristu omuwanguzi, Ggwe ttawaaza yaffe mu nsi muno, Ggwe lugero lw’abavubuka bonna. Wangula, wangula, wangula Kristu wangula x2 Kristu Luwangula. | |
1. | 1. “Ono ye mwana wange omwagalwa ennyo mumuwulirenga, Ono musiige wange omwetowaze omuwulize Batonde bonna mmwe mukimanye. |
2. | 2. “Ono ye Mwana wange abaagala ennyo Omulokozi azze, Ono Messiya y‟ono n‟obulamu abuwaddeyo, Batonde mwenna mmwe mumumanye. |
3. | 3. Wavubukanga mu myaka gyo, ng‟ojjude amagezi, N‟enneema ya Katonda ng’ekuliko. Ng‟osanyusa Katonda n‟abantu. Yamba abavubuka, bakufaanane mu mayisa, Bavubuke mu kukkiriza. |
4. | 4. Wavubukanga mu budde bwo ng‟ojjudde obulamu, Ne mwoyo wa Katonda ng‟akuliko. Yamba abavubuka bakufaanane mu magezi Bakakate mu kukkiriza. |
By: Fr. James Kabuye |