Indirimbo ya 261 mu CATHOLIC LUGANDA
261. WANGULA KRISTU
Ekidd: | |
: Wangula, wangula Kristu Omununuzi, Ebendera ey’obuwanguzi yeewuube mu nsi yonna, Wangula, wangula twewaanira mu Ggwe Kristu Omuwanguzi wangula, wangula wangula, Obwakabaka bwo bubune ensi yonna. | |
1. | 1. Wazaalibwa ng‟oli Kabaka Kiwamirembe, Omwana wa Katonda amufaanana okukamala Bw‟olaba ku Mwana ng‟olabye Kitaawe; bombi bali kimu. Wangula, wangula, Kristu wangula ensi, Wangula, wangula lamula fuga ensi yonna. x2 |
2. | 2. Wazaalibwa ng‟oli Kabaka Kiwamirembe; Walangibwa nti Ggwe olisikira Jjajjaawo Daudi N‟otuula mu Nnamulondo emirembe. Wangula, wangula, lamula fuga ensi Wangula, wangula lamula fuga ensi yonna. x2 |
3. | 3. Tumwebazenga yatununula ng‟afiirira ensi, Yalangibwa, ye w‟okuwangula sitaani n‟ababe, Alibagoba emirembe. Wangula, wangula, lamula fuga ensi Wangula, wangula lamula fuga ensi yonna. x2 |
4. | 4. Tugiggudde, tugiggudde emitima, Yingira Kristu Omununuzi, Tusazeewo tunaakuwulira tetukuveeko, Yingira, yingira, Kristu weebale nnyo, Yingira, yingira, lamula ensi yonna. x2 |
By: Fr. James Kabuye |