Indirimbo ya 264 mu CATHOLIC LUGANDA
264. YEZU KATONDA GWE TUSINZA
Ekidd: | |
: Yezu Katonda gwe tusinza, Ggwe otufuga, tukwagala: Ggwe Kabaka ow’obuyinza, Byonna byonna Ggwe obitwala. | |
1. | 1. Tukwatula Kabaka Yezu, Wonna wafuna obuyinza: Patri ye yalagira abantu Bonna bakuwulirenga. |
2. | 2. Mu kisa kyo, Kabaka Yezu Watuwonya; twali baddu. Masitaani nga ge tusinza, Amaddu nga gatutwala. |
3. | 3. Obuganda, leero ttwale lyo; Ku Myanga lwe yalinyweza, Abasaale Abajulizi bo Bwe baafa kye baategeeza. |
By: W.F. |