Indirimbo ya 267 mu CATHOLIC LUGANDA
267. YEZU LAGIRA, FUGA
1. | 1. Nandibadde ng’abantu bangi Bakugaana nga Katonda Ffe nno ayi Yezu Mulokozi Tukwatula nga KABAKA. Ekidd.: Yezu lagira, fuga; Ffenna tuli babo; Gaziya ate enngoma yo; Otwale ensi yonna. |
2. | 2. Wazaalibwa mu nsi ng‟omuntu, Ekitiibwa n‟okikisa, Sso emirembe gyonna mu ggulu Watuulanga nga KABAKA. |
3. | 3. Eyakuzaala mu nsi yattu Ye Maria Nnamukisa; Nga bombi ne bbaawe Yozefu Ba mu lulyo lwa KABAKA. 8. Ng‟otudde ku ddyo ogwa Kitaawo Abamalayika bonna Bakusinza mu kitiibwa kyo, Ne bayimba nti: KABAKA. |
By: WF |