Indirimbo ya 268 mu CATHOLIC LUGANDA
268. YEZU OKUKUJJUKIRA
1. | 1. Yezu okukujjukira, Lye ssanyu ly‟emyoyo gyaffe Naye ekisinga byonna, Kwe kubeera kumpi naawe. |
2. | 2. Teri kigambo kya ssanyu Na kitabo kitereevu, Teri nnyimba mpoomerevu. Awatatendebwa Yezu. |
3. | 3. Tiwali gwe nnyimbirira Tiwali gwe mpuliriza, Tiwali gwe nzijukira, Asinga Yezu ekisa. |
4. | 7. Yezu beera ssanyu lyaffe, Nga bw‟oliba empeera yaffe, Mu Ggwe wekka tujaguze, Emirembe n‟emirembe. |
By: W.F. |