Indirimbo ya 270 mu CATHOLIC LUGANDA
270. AYI MUTIMA GWA YEZU
Ekidd: | |
: Ayi, Mutima gwa Yezu, Wulira ffe abaddu; Yezu waffe tukwagala, Ggwe tufuge, Ggwe Kabaka, Yezu waffe tukwagala, Ggwe tufuge, Ggwe Kabaka. | |
1. | 1. Tukwagala mu Batismu; Watufuula baganda bo! Otukuumenga bulijjo, Otutuuse ne mu ggulu. |
2. | 2. Yezu waffe, tukwagala! Ggwe ali wano mu Ostia, Osobole okutuliisa Awatali kwenyinyala |
3. | 3. Yezu waffe, tukwagala! Olw‟okutwetambirira Ku Altari, buli lukya, Ggwe Kaliga ka Katonda. |
By: W.F. |