Indirimbo ya 272 mu CATHOLIC LUGANDA
272. KATONDA YEZU OMWAGALWA
1. | 1. Katonda Yezu omwagalwa, Otwekwese tolabika; Jangu leero otusanyuse, N‟enneema zo zitujjuze! Tukwagala, tukwesiga Ggwe eyekwese mu Ostia. |
2. | 2. Watwewa dda ng‟ekyokulya Nga wekweka mu Ostia, Bwe ntyo, nga ndya Omubiri gwo, Nneme kutya kitiibwa kyo. Jangu, nnyini butukuvu Leero nzenna nneevuddemu. |
By: M.H. |