Indirimbo ya 276 mu CATHOLIC LUGANDA
276. TUKUSINZA YEZU KABAKA
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Tukusinza Yezu Kabaka Mu Ssakramentu lyo Tumanyi bw’oli naffe wano Tweyanze Kabaka waffe Beeranga mu ffe tunywedde Ku Ggwe tuweze n’amaanyi Okukuweereza, tuweze, tukwewa Kabaka waffe. |
2. | 1. Ekisa ekingi ky‟olaga kyonna Yezu ssikitenda nze, Wewaayo ddala n‟ofa olw‟ensi eno n‟otununula abantu. Kati nno tukwekola tuwera n‟amaanyi, bulijjo Ye Ggwe Mukama waffe ddala. |
3. | 2. Okuva obw‟edda toyabulira kiisi eyeeyuna gy‟oli, Ffe abazze wano tusaba Ssebo obuyambi bwo obwawufu Sitaani tumwevuma, twesiga byogamba, byonna Tujja kubituusa mu mazima. |
4. | 3. Ekisa ekingi tulikyekola Yezu ky‟olaga eri ffe, Weeresa byonna Yezu n‟otwewa, ye Ggwe mmere y‟abantu, Tuliise n‟omubiri gwo, nyweza b’oyagala Otutuuse mu kwesiima okw‟emirembe. |
By: |