Indirimbo ya 277 mu CATHOLIC LUGANDA
277. TUSINZE SSAKRAMENTU
1. | 1. Tusinze Ssakramentu, Omwekisizza Yezu, Ye mmere y‟omu ggulu, Ge maanyi bwe bulamu. |
2. | 2. Yezu ng‟atwagala nnyo, Yagaana okutuvaako, Kye kimutuuza leero, Mu Ssakramentu lino. |
3. | 3. Yagamba Abatume be: “Mukole nga bwe nkoze, “Kino Mubiri gwange, “Kino Musaayi gwange”. |
4. | 4. Ne bulijjo mu Missa, Omubaka bw‟agamba, Awo Yezu kwe kujja, N‟abeera mu Ostia. |
5. | 5. Tiwakyali mugaati, Gufuuse mubiri gwe; N‟evviini mu kikompe Efuuse Musaayi gwe. |
By: W.F. |