Indirimbo ya 279 mu CATHOLIC LUGANDA
279. MUJJE MWENNA OKULABA
1. | 1. Mujje mwenna okulaba, Ow‟ekisa omuteefu, Mujje mwenna okusinza Omutima ogwa Yezu. |
2. | 2. Ekkomi eribugujja, Omulyango ogw‟eggulu, Ogujjudde okwagala! Gwe Mutima ogwa Yezu. |
3. | 3. Ggwe Patri mwe yeesiimira, Omwana ye yakujjamu, Mu Ggwe nno Mwoyo mw‟atuula Ayi Mutima ogwa Yezu. |
4. | 4. Omukwano omulungi Ogw‟emyoyo emirongoofu, Ogusaanidde obuganzi, Gwe Mutima ogwa Yezu. |
By: W.F. |