Indirimbo ya 280 mu CATHOLIC LUGANDA

280. YEZU NKUSINZA


1.1. Yezu nkusinza nze nkwewuunyizza,
Mu Ssakramentu mw’olabikira,
Omutima gwange gukwewuunyizza
Ku lw’obwetowaze bwo mw’olabikira.
Ekidd.: Ayi Yezu nkusinza oli wano
Ayi Yezu nkusinza ntenda. x2
2.2. Yezu nkusinza nze nkwewuunyizza,
Eyekisa ddala n’otubeeramu
Buli kye ndaba ntya ne bwe kiba kitya,
Kyonna tekindaga Ggwe Yezu bw’ofaanana.
3.3. Yezu omulungi otwagala kufa,
Mu Ssakramentu weetowazizza
Olunaku lwonna otulindirira nnyo,
Laba oyaniriza yenna akukyalira.
4.4. Yezu nkutenda Ggwe eyeetowazizza,
Ebintu bye ndaba binnimba nnyo
Kye wagamba kyokka kinnyamba ne nnguma,
Katonda gwe mmanyi mw’oli n’obukulu bwo.
5.5. Yezu nkusinza, nze njagala kimu,
Nkulabeko ddala mu kitiibwa kyo,
Omutima gwange gukwagaza kimu,
Ndabe obuyinza bwo era n’ekitiibwa kyo
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 280 mu Catholic luganda