Indirimbo ya 282 mu CATHOLIC LUGANDA
282. YEZU WAFFE OMUNUNUZI
1. | 1. Yezu waffe Omununuzi, Omutonzi w’ebiriwo Abakukkiriza mu nsi Bonna beesiga ekisa kyo. |
2. | 2. Wajjirira kimu kyokka: Kwe kutulokola ffenna, Mu buddu mwe twakulira Ne leero totwabulira. |
3. | 3. Eky’okwenunula ffekka Ffenna wamu kyatulema Ggwe wakisobola wekka Nga weefudde ng’ekyonziira. |
By: W.F. |