Indirimbo ya 287 mu CATHOLIC LUGANDA

287. AYI MWOYO MUTUUKIRIVU


Ekidd:
: Ayi Mwoyo Mutuukirivu,
Omutonzi waffe jangu,
Otuule mu myoyo gyaffe,
N’enneema zo zigijjuze.
1.1. Ayi Ggwe Omuwolereza
Ekitone kya Katonda
Omuliro n’okwagala
Mbeere ggwe nsulo y’enneema.
2.2. Otuwe n’okutegeera
Otusseemu n’okwagala
Otujjuze n’amaanyi go
Mu mubiri ne mu mwoyo.
3.5. Leero tusseemu ekitiibwa
Katonda Patri ne Mwana,
Tubatendereze wamu
Ne Mwoyo Mutuukirivu.
By: W.F.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 287 mu Catholic luganda