Indirimbo ya 289 mu CATHOLIC LUGANDA
289. EBITONE BIRI BINGI
Ekidd: | |
: Ebitone biri bingi, omugabi y’omu, Ye Mwoyo w’Amagezi, ye Mwoyo w’Amaanyi akolera mu ffe. Buli lwe yeeyoleka, buli lwe yeeyoleka ayagala kutugasa, Kugasa balala …. balala balala x2 Akuume Omubiri gwa Kristu Nga munywevu, mugumu, mulamu Gunyiridde n’ebitone bye Kisulo kya Katonda ekitemagana. | |
1. | 1. Gw’awa ekyamagezi …. Oyo Mwoyo Y’alanga ebirijja …. Mwoyo y’omu oyo. |
2. | 2. Gw’awa n’ayagala ….. Oyo Mwoyo Y’anyweza amazima …… Mwoyo y’omu oyo. |
3. | 3. Gw’awa n’ayagala … Oyo Mwoyo Y’awaayo obulamu bwe ..Mwoyo y’omu oyo. |
4. | 4. Gw’awa n’akuguka …. Oyo Mwoyo Y’avvuunula amazima …. Mwoyo y’omu oyo. |
5. | 5. Gw’awa ebyokufuga …. Oyo Mwoyo Y’akulira abalala …. Mwoyo y’omu oyo. |
6. | 6. Gw’awa ogw’Obutume… Oyo Mwoyo Awonya n’emyoyo …. Mwoyo y’omu oyo. |
7. | 7. Twabatizibwa mu Mwoyo omu ne tufuuka mubiri gumu, Twanywa ku Mwoyo omu ne tufuuka baana ba boowo. Twannyikira mu Mwoyo omu ne tufuuka biggwa mw’asula. |
Ekidd: | |
: Jangu, jangu Mwoyo ggwe, jangu jangu mu nnyumba yo. a) Abatwalibwa Mwoyo, be baabo abaana ba Katonda. b) Abakumanyi Mwoyo be baabo abaana ba Katonda. c) Abawulira Mwoyo be baabo abamanyi Katonda. d) Atuwanguza ffenna abeewa Mwoyo wa Katonda. e) Akuzuukiza bw’ofa, Mwoyo oyo amaanyi ga Katonda. | |
By: Fr. James Kabuye |