Indirimbo ya 291 mu CATHOLIC LUGANDA

291. JANGU, J ANGU MWOYO


1.MUTUUKIRIVU (Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Jangu, Jangu, Mwoyo Mutuukirivu Omukubagiza,
Jangu, Jangu, Mwoyo Mutuukirivu omuzirakisa.
2.1. Kitaffe gwe yagamba omuzirakisa,
Nti alijja ffe atubeere n’obuyinza bwe.
3.2. Ggwe Yezu gwe walanga omuzirakisa,
Nti osibuka mu Patri ne Mwana we.
4.3. Ggwe omwagalwa Omutiibwa gwe nzirinngana,
Ffe tujjuze abatonde n’ebitone byo.
5.4. Ggwe ow’ekisa Omutiibwa atuwolereza,
Kitone kya muwendo eky’olubeerera.
6.5. Omwagalwa koleeza okwagala okukwo
Okujjuze ffe aboolo b’okulembera.
7.6. Ggwe tujjuze ekitangaala ky’obutuufu bwo,
Eddiini tuginyweze gy’oyigiriza.
8.7. Atwagala tuwe amaanyi ag’obuyinza bwo,
Myoyo gyaffe gyole mw’otebenkera.
9.8. Sitaani mugobenga n’obuyinza bwo,
Mirembe gyo tuwe ku nsi egy’olubeerera.
10.9. Kulembera ggyawo entaanya tukuwondera,
Batuwonye bonna ku nsi abatuwalana.
11.10. Yamba tuyige Patri n’obuyinza bwe,
Tumwekolenga Mwana n’obubaka bwe.
12.11. Kitiibwa tukiwe Patri ow’olubeerera,
Omwana tumutendenga ow’olubeerera.
13.12. Ggwe atwagala Omuyinza Mwoyo Kwagala,
Ettendo mufune mwenna kyenkanyinkanyi.
By:



Uri kuririmba: Indirimbo ya 291 mu Catholic luganda