Indirimbo ya 293 mu CATHOLIC LUGANDA
293. JANGU MWOYO MUTUUKIRIVU,
1. | JANGU (Fr. Vincent Bakkabulindi) Ekidd.: Jangu Mwoyo Mutuukirivu Jangu Emirembe gibe ku ffe, Jangu! |
2. | 1. Ggwe Yezu gwe yasuubiza: Jangu Ffe abantu bo tukwagala: Jangu. |
3. | 2. Emyoyo gyaffe gyamule: Jangu Obulamu obugiddize …. Emirembe. |
4. | 3. Ggwe tumulise, titulaba: Jangu Ebimyanso byo bitujjule Emirembe. |
5. | 4. Amagezi gaffe gawubwa: Jangu Ggwe tubangule otulunngamye Emirembe. |
6. | 5. Omulabe waffe yeetala: Jangu Mutusaggire omumegguze …. Emirembe. |
7. | 6. Emirembe gyo tuleetere: Jangu Otuwonye buli kyetere….. Emirembe. |
8. | 7. Ne Kitaffe tumuwulire: Jangu Nga ne Mwana bwe tumwekola Emirembe. |
9. | 8. Ekitiibwa tukiwe Kitaffe: Jangu Ne Mwana eyazuukira Emirembe. |
10. | 9. Ggwe Kitaffe gwe yasuubiza: Jangu Ekitiibwa kati kyeddize: Emirembe. 10. Emyoyo gyaffe giigino: Jangu Ebitone byo yiwa muno Emirembe. |
By: |