Indirimbo ya 294 mu CATHOLIC LUGANDA
294. ANGU OMUGABI W’EBITONE
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Mwoyo Mutuukirivu …… Jangu Mwoyo Kiwamirembe …. Jangu Jangu jangu Mwoyo otuyamba jangu otubeeremu. |
2. | 1. Omugenyi omulungi ………… jangu Kitaawe w’abanaku ………… jangu, jangu Omugabi w’ebitone …………. jangu Mukubagiza w’abanaku ……..jangu, jangu Kiwummulo kyaffe ………………. jangu Omulyoyi w’emyoyo ……………. jangu, jangu. |
3. | 2. Ggwe eyayogeza Abatume ennimi ze batamanyi jangu JANGU MWOYO OTUBEEREMU. Ggwe eyagabira Abatume amaanyi amazibu jangu Ggwe eyakozesa Abatume bali ebyamagero jangu Ggwe eyayiwa mu Batume amagezi amazibu jangu Ggwe eyayamba Abatume ne baba abazira jangu. |
4. | 3. Ebitone byo by’ebituyamba okumanya, ne twawula ekirungi n’ekibi, Ebitone byo by’ebituyamba okumanya ne tutegeera ebyamagezi by’otuwa, Ebitone byo by’ebituyamba okuguma ne tunyweera mu bulungi ne mu bubi. Atabirina ekirungi takimanya, atabuka ekibi n’akyettanira Gwotayambye byonna olwo abitabula, ebitagasa by’afuula obulamu bwe. Ebitone byo gw’obigabira ali wagumu, lwe lukomera, ekigo mwe yeewogoma. Kye tukusaba jangu ffe otubeeremu Ggwe omuyambi, jangu tukwagala nnyo -Mwoyo. |
By: |