Indirimbo ya 295 mu CATHOLIC LUGANDA
295. MWOYO OMUTONZI YANGUWA!
1. | 1. Mwoyo Omutonzi, yanguwa, Okyalire abakwegomba; Jjuza be ddu n’enneema yo Emmeeme z’abatonde bo. |
2. | 2. Ggwe oyitibwa Musaasizi, Ggwe nsulo y’obuwanguzi; Kitone ekitatondebwa, Ggwe muliro, Ggwe kwagala. |
3. | 3. Ggwe otwogeza ebyamazima, Nga Patri bwe yasuubiza; Ggwe lunwe lw’omukono gwe Mugabi ng’otugabidde. |
4. | 7. Katonda Patri atakoma, Ne Mwana Ggwe eyazuukira, Era Ggwe Omukubagiza: Mutendebwe lubeerera! |
By: M.H. |