Indirimbo ya 296 mu CATHOLIC LUGANDA
296. NNINA OMUWOLEREZA
Ekidd: | |
: Nnina Omuwolereza omulala, Ye Mwoyo Mutuukirivu, Asibuka mu Kitange, Bw’alijja oyo alinjulira, Alitoola ku byange n’abivvuunula. | |
1. | 1. Aliyigiriza byonna, n’abajjukiza bye nnabagamba, Ye Mwoyo ow’amazima; ye Mwoyo w’ebitone, Alinjulira nammwe mulinjulira. |
2. | 2. Anaababeeramu Mwoyo, ne mukkiriza bye nnabagamba, Ye Mwoyo ow’amazima, ye Mwoyo w’ebitone, Alinjulira nammwe mulinjulira. |
3. | 3. Anaabasulamu Mwoyo, mube baawufu mubeere bange, Ye Mwoyo w’okwagala, ye Mwoyo w’amagezi, Alinjulira nammwe mulinjulira. |
4. | 4. Anaabasomesa byonna, n’eby’enjawulo mumanye bingi, Ye Mwoyo ow’amazima, ye Mwoyo w’amagezi, Alinjulira nammwe mulinjulira. |
5. | 5. Ababakonjera bonna banaamenyeka, Mwoyo ali nammwe, Ye Mwoyo ow’obuzira, ye Mwoyo w’ebitone, Alinjulira nammwe mulinjulira. |
6. | 6. Amaanyi anaabawa mwenna, mube beesigwa ng’oyo ali nammwe, Ye Mwoyo ow’amazima, ye Mwoyo w’ebitone, Alinjulira nammwe mulinjulira. |
By: Fr. James Kabuye |