Indirimbo ya 297 mu CATHOLIC LUGANDA

297. WAMMA WAMMA


1.ATENDEREZEBWE (Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Wamma wamma atenderezebwe
Wamma wamma atenderezebwenga Omukama
Atuwadde Mwoyo we.
2.1. Katonda Kitaffe nze mmwebaza,
Yanfuula mwana mu Nnyumba ye
Yampa anaantukuza Omusuubize
Mwoyo wa Kristu Omwana we.
3.2. Yalangwa luli edda nti alijjula,
Abantu abangi abamumanyi,
Bonna ne balanga ebikusike
Ebintu ebikulu ebirijja.
4.3. Katonda Kitaffe yamutuwa,
Mwoyo wa Kristu n’atujjula
Mwoyo ow’amagezi atwagala,
Mwoyo ow’amaanyi y’antambuza.
5.4. Mmusinza Kitaffe butakoma,
Nneewuunya nnyo nze ekisa ekikye;
Ampadde ekirabo ekikusike,
Mwoyo ow’amaanyi Mutalemwa!
6.5. Mwoyo wa Kristu ankozesa,
Ebisinga nze mbisobola
Afuula abanaku ku nsi kuno,
Biggwa mw’asiiba ng’alamula.
By:



Uri kuririmba: Indirimbo ya 297 mu Catholic luganda