Indirimbo ya 298 mu CATHOLIC LUGANDA
298. AMATENDO GA BIKIRA MARIA
1. | 1. Tukunnganidde gy’oli Nnyaffe 6. Endabirwamu y’obulungi, Tukutende mu nnyimba zaffe. Omwerabirwa empisa ennungi. |
Ekidd: | |
Ave, Ave. Ave Maria 7. Abali naawe bakuyita Ave, Ave, Ave Maria. Kabaka waabwe, ayi Maria. | |
2. | 2. Ggwe oli Muzadde, ayi Bikira, 8. Ggwe ow’obuyinza, Ggwe ow’ekisa Eyatuzaalira Omukama. Ffe abateyinza totuleka. |
3. | 3. Nnyina Katonda, Nnyina enneema, 9. Mubeezi waffe, Ggwe Kabaka Eyakutonda yakutuwa. Wa Bajjajjaffe abaakulanga. |
4. | 4. Tolina bbala mu mwoyo gwo, 10. Ku ffe abalwala Ggwe bulamu, Kuba wazaala Mukama wo. Olitutwala ne mu ggulu. |
5. | 5. Ye Ggwe asaanidde okwagalwa, 11. Tusabirenga ffe abaana bo, Ye Ggwe asaanidde okutendwa. Tuyagalenga Omwana wo. |
By: W.F. |