Indirimbo ya 301 mu CATHOLIC LUGANDA
301. AVE MARIA NNYINA KATONDA
Ekidd: | |
: Mmange nkutenda n’obutakoowa, Kampegawano n’edda lyonna. | |
1. | 1. Ave Maria, Nnyina Katonda 2. Ave Maria, nnamusa bwe ntyo Ng’oli mulungi, nkwewuunyizza! Mmange Omutiibwa buli lukya, Ennyimba zonna ezikusuuta, Enkya, mu ttuntu ne bwe buziba, Zigezaageza, Togereka! Mbuusa Maria mmwesiimamu. |
2. | 3. Ave Maria, singa nno mpeebwa Okukulaba, Nnamasole! Ayi Mmange, mbeera, nga ndi mulamu, Tonvaako, Nnyabo nga nzirika! |
By: M.H. |