Indirimbo ya 302 mu CATHOLIC LUGANDA
302. AYI MARIA NNYIMBE LEERO
Ekidd: | |
: Ayi Maria nnyimbe leero ettendo lyo. | |
1. | 1. Nnyaffe, wafunibwa mu nda Ng’oli mutukuvu ddala, Buli kibi, buli bbala Wabiwona. |
2. | 2. Wazaalwa Yeruzalemu N’okulira mu Eklezia; Wazaalira e Betelemu Omukama. |
3. | 5. Nnyaffe mu ggulu tolabwa! Ofuga Bamalayika Tukuumire entebe ennungi Kumpi gy’oli. |
By: W.F. |