Indirimbo ya 306 mu CATHOLIC LUGANDA
306. BIKIRA MARIA OWA ROZARI
1. | 1. Maria tukulamusa; Titwosa kukujjukira, Mu ssanyu lyo, mu nnaku zo, Era ne mu kitiibwa kyo. |
2. | 2. Wabuulirwa Malayika, N’okyalira muganda wo, N’ozaala, n’owaayo Yezu, Bwe yabula n’omulaba. |
3. | 3. Yezu yanyolwa n’akubwa, Amaggwa gaamufumita, Ne yetikka Omusaalaba, N’afa okutulokola. |
By: W.F |