Indirimbo ya 312 mu CATHOLIC LUGANDA
312. GGWE NNYAFFE TUKUTENDA
1. | 1. Ggwe Nnyaffe tukutenda, Wamu n’Omwana wo, Tukaaba nga tusinda Ku kifaananyi kyo. |
Ekidd: | |
: Tusaasire Maria Nnyaffe omubeezi ow’ekisa Ogonze Omwana wo, n’otusonyiyisa. | |
2. | 2. Tuzze okukulagaanya Wano mu maaso go; Laba bw’otukunngaanya, Abakulu n’abato. |
3. | 3. Omwana wo bw’akoowa Ng’akola emirimu, Ng’avuddeyo n’akwewa Beera kiwummulo. |
4. | 4. Awo leero endagaano Tugiddemu buggya: Beera Nnyaffe Maria, Tubeere baana bo. |
By: W.F |