Indirimbo ya 313 mu CATHOLIC LUGANDA
313. KABAKA W’EMIREMBE
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Kabaka w’emirembe Maria omuzadde atalemwa Kabaka w’emirembe Nnyaffe tusabire emirembe. |
2. | 1. Oyo alagira ennyanja yonna n’eteeka Tusabire Omukama byonna abikomeko. |
3. | 2. Oyo agolola omukono n’amayengo ne gateeka Tusabire Omukama byonna abikomeko. |
4. | 3. Oyo ayogera ekigambo kye byonna ne bimuwulira Tusabire Omukama atunyweze mu mirembe. Muyambi w’abateyinza – Omuzadde atalemwa Nnyaffe tusabire emirembe. Kiddukiro ky’aboonoonyi Ssuubi ly’abanaku ku nsi Ndabirwamu y’ebirungi byonna Nsibuko y’essanyu lyaffe Nkuluze y’ebirungi byonna Mukubagiza w’abanaku ku nsi Mubeezi w’abanaku ku nsi Nnyina Katonda Omulokozi oli Omuzadde w’abatonde bonna. |
By: |