Indirimbo ya 317 mu CATHOLIC LUGANDA
317. MARIA NNYAFFE
Ekidd: | |
: Maria Nnyaffe tukukwasizza Emyoyo gyaffe ogikuumenga Twagala mu nsi okukusenga Mu ggulu n’okukutenda. | |
1. | 1. Wawona sitaani Mu kutondebwa kwo, Tiwakola kabi Mu bulamu bwo. |
2. | 2. Wasenga Katonda Ng’oli mwana muto, Bulijjo ng’onyweza Endagaano zo. |
3. | 3. Yezu yakulonda Mu bakazi bonna, N’akuyita Nnyina Eyamuzaala. |
By: W.F. |