Indirimbo ya 318 mu CATHOLIC LUGANDA
318. MARIA NNYAFFE OTUYAMBE
Ekidd: | |
: Maria Nnyaffe, otuyambe; Ennaku zitusanze, otuwolereze. x2 | |
1. | 1. Tuzze gy’oli ayi Bikira Nnyaffe, Tuvunnamye ffenna mu maaso go, Tega okutu, Muwolereza waffe, Owulire essaala z’abaana bo. |
2. | 2. Laba ebyalo biweddemu abantu, N’enju zonna leero bifulukwa. Tuwulira ebiwoobe n’enduulu, Tunadda wa Ggwe bwototuyamba? |
3. | 3. Twayonoona, ggwe wamma gutusinze, Naye leero tumenyese emyoyo Ggya amaaso go ku bibi bye tukyaye, Tusaasire ng’oggya mu kisa kyo. |
4. | 4. Ayi Mukama watutonda Ggwe nnyini, N’otubumba ffenna n’engalo zo; Weerabire nga bwe tuli aboonoonyi, N’ojjukira nga tuli baana bo. |
5. | 5. Oba ogaya amaziga ge tukaaba, Omwana wo ye atuwanjagira; Tunuulira ku biwundu bya Yezu; Notogaana kusaasira bantu. |
6. | 6. Ayi Mukama, Ggwe Omutonzi wa byonna, By’olagira biwulirwa mangu, Obulwadde bujja okumala abantu, Bukomeko ffenna tunaawona. |
By: W.F. |