Indirimbo ya 319 mu CATHOLIC LUGANDA
319. MARIA NNYINA YEZU KRISTU
1. | (Fr. James Kabuye) Ekidd.: Maria, Nnyina Yezu Kristu wa bonna, Maria, Nnyina Yezu Kristu, tuyambe. |
2. | 1. W’obeera mu Kitambiro tobula, W’obeera ng’oweereza, Nnyaffe ow’ekisa ennyo tuwolereze. |
3. | 2. W’obeera mu kutambira tobula, W’obeera ng’otambira, Yezu anti agatta, ffenna abantu be. |
4. | 3. Nnyaffe Ggwe, ffe abaana tuutuno, Tweyunye obuyambi bwo, Gonza oyo Kitaffe, kuba twasobya. |
5. | 4. Ssuubi lya bonna abakwesiga, Tumanyi ekisa kyo ekyo, Yamba ffe abadaaga, mu nsi eno enzito. |
By: |