Indirimbo ya 320 mu CATHOLIC LUGANDA
320. MARIA TUYAMBE TULI BAANA BO
1. | (George Ssebutinde) Ekidd.: Maria, Nnyina Katonda, tuyambe tuli baana bo, Tusabire eri Katonda, atuwe bye twetaaga. |
2. | 1. Paapa, Abepiskoopi, Abasaserdooti bonna, Bayambe bulijjo ng’obasabira, batutuuse gy’obeera. |
3. | 2. Ensi Uganda ogitaase, yakukwasibwa kuva dda, Ogitaase omulabe agimalawo, Maria oli Kabaka wa Mirembe. |
4. | 3. Amaka Nnyaffe ogataase, gabeere ga ddembe Gakuze abaana mu kwagalana, nga banywevu mu kukkiriza. |
5. | 4. Abaana abo abawere, bawambaatire mu mikono gyo, Obataase era ng’obasabira, bakule nga ba mugaso. |
6. | 5. Endwadde ezo zimaze abantu, enju ezo bifulukwa, Atuwenja walumbe atumalawo, Maria tusabire tuggwaawo. |
By: |