Indirimbo ya 321 mu CATHOLIC LUGANDA

321. MIREMBE AYI MARIA


1.1. Mirembe ayi Omuzadde, ffe tuli baana bo
Ayi tuzze okukutenda n’okukulamusa.
Ggwe Nnyina wa Katonda, yennyini yakulonda,
Maria, Maria, tukulamusa.
2.2. Mirembe ayi Kabaka, ffe tuli baana bo,
Ofuge emyoyo gyaffe, obeere nnyini gyo!
Nnamasole wa Yezu, Omuzadde ggwe omuteefu:
Maria, Maria, tukulamusa.
3.3. Mirembe ggwe Omutiibwa, atiibwa mu ggulu,
Ojjudde enneema zonna, ggwe oli mutukuvu.
Ayi ggwe omulungi ddala, mu ggwe timuli bbala:
Maria, Maria, Ggwe mutukuvu.
4.4. Mirembe Omuzadde ataayonooneka,
Ggwe wekka ggwe wazaala ng’obeera Bikira;
Awonno buli ggwanga likugulumizenga:
Maria, Maria, Nnyina, Bikira!
5.5. Tommanga kutuyamba, Maria omwagalwa,
Mu nnaku, mu kibamba, leero ne mu kufa!
Ayi tujunenga, Nnyaffe Ggwe oli mukuumi waffe,
Maria, Maria, tukukoowoola.
By: M.H.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 321 mu Catholic luganda