Indirimbo ya 322 mu CATHOLIC LUGANDA
322. MIREMBE EMBEERERA
1. | 1. Mirembe embeerera! Ggwe oli nga eddanga eryanya Ery’obubiikira; Katonda tiyaganya Mu Ggwe kibi kyonna. Embeerera, Ggwe twesiga Tusabire kaakano, Naddala nga tufa. |
2. | 3. Ayi Ggwe, Nnamasole, Katonda yakulonda, Ofuuke Nnyina we: Ayi Nnyina we: Tukugulumize. Nnamasole, tukwewadde, Tusabire kaakano, Naddala nga tufa. |
By: M.H. |