Indirimbo ya 323 mu CATHOLIC LUGANDA
323. MIREMBE GGWE
Ekidd: | |
: Oh, Mirembe Mmunyeenye y’ennyanja Ggwe, Nnyina Katonda, Nnyaffe oyo embeerera, Walondwa Ggwe gyonna emyaka, Ye Ggwe mulyango omuva enneema, ogw’eggulu. | |
1. | 1. “Mirembe nnyo Nnyaffe”, ffenna tugamba nga Gabrieli, Tunyweze nnyo tugumye, fuula bw’otyo erinnya ly’Eva. |
2. | 2. Tulamuse Nnyaffe, nga tweyamba embuuza y’Elizabeti, “Mirembe ojjudde sso, enneema enkumu ennonde Nnyaffe.” |
3. | 3. Kivudde wa nze nno? Nnyina w’Oyo Yezu okujja gye ndi! Kino kya ssanyu leero, nfunye wamma bingi, nange. |
4. | 4. Tukulamuse Nnyaffe, Maria ajjudde enneema ya Yezu, Mirembe ssanyu lyaffe, kuuma abazze gy’oli, yamba. |
By: Fr. James Kabuye |