Indirimbo ya 324 mu CATHOLIC LUGANDA
324. MIREMBE NNYAFFE OW’EKISA
1. | 1. Mirembe Nnyaffe ow’ekisa, O Maria! Kabaka tukulamusa, O Maria! |
Ekidd: | |
: Twetabe ffe ffenna ne Bamalayika; Nnyabo tukuyimbira: Salve! Salve! Salve Maria! | |
2. | 2. Laba tukoowoola gy’oli, O Maria! Ffe abaana ab’Eva omwonoonyi, O Maria! |
3. | 3. Tukaaba tukusindira, O Maria! Mu nnyanga eno ey’amaziga, O Maria! |
4. | 4. Amaaso go amagonvu ennyo, O Maria! Gasimbe nno ku baana bo, O Maria! |
5. | 5. Ne Yezu Omwana wo ddala, O Maria! Mutwolese mu bwokufa, O Maria!MIREMBE GGWE NNAMASOLE (W.F.) |
6. | 1. Mirembe ggwe Nnamasole, Muzadde w’Omulokozi; Mugole waffe Omusaale, W’abatabaazi ab’oku nsi. Ekidd.: Ayi Maria tuwanjaga; Tuyambe tutuuke mu ggulu. 2. Ndabirwamu etemagana, Ayi Bikira Omusaasizi; Ekitebe ky’amagezi, Nsibuko y’essanyu lyaffe. 5. Kiddukiro ky’aboonoonyi, Ggwe atuwa enneema zonna Abaana bo tuzze gy’Oli, Tusabire, tukwesiga. |
By: M.H. |