Indirimbo ya 325 mu CATHOLIC LUGANDA

325. MU GGULU DDALA MARIA


Ekidd:
: Mu ggulu, mu ggulu, mu ggulu ddala Maria
Ggwe oli mu ggulu. x2
Nnyaffe oli mu ggulu Nnamasole oli mu ggulu
Nnyaffe oli mu ggulu n’omubiri gwo oli mu ggulu.
1.1. Mukyala omulondemu, muzadde omulondemu
Mukyala atemagana, omuzadde amasamasa,
Mmambya etemagana, omuzadde amasamasa,
Naffe ffe abaana bo, Ggwe Nnyaffe omuzirakisa.
2.2. Ddunda Nnamugereka ye yakulondamu,
N’oba omuzaana we eyazaala Omwana we,
Mukyala oli magero, omulungi ddala ddala,
Ddunda Nnamugereka yakuwunda ddala ddala.
3.3. Ggwe wazaala Omwana wo, Omulokozi ddala ddala,
Ye Mwana ddala ddala owa Kitaffe nnamaddala,
Wa luganda nnamaddala ggwe muzadde ddala ddala,
Twesiimye ffe abaana bo ggwe Nnyaffe ddala ddala.
4.4. Nnabakyala omuzirakisa, ng’obudde buweddeyo,
Obwaffe okusomoka tujje eyo eri Lugaba,
Beera omwanjuzi ggwe Nnyaffe eri Lugaba.
Twesiime mu lubiri lwe ng’abaana abawanguzi.
By: Ben Jjuuko



Uri kuririmba: Indirimbo ya 325 mu Catholic luganda