Indirimbo ya 327 mu CATHOLIC LUGANDA
327. NNYABO OMULUNGI ENNYO
1. | 1. Nnyabo omulungi ennyo, Ggw’oli kiddukiro, Eky’abasenze bo! Nkweyanzizza! Oli musanyufu, oli mukkakkamu, Oli mutukuvu ng’omuzira! |
Ekidd: | |
: Ayi nno ggwe Nnyabo, beeranga ngabo; Tondeka ttayo nga ndi mu kabi, Ntaasa sitaani n’amaddu g’ensi! | |
2. | 2. Mmange omugagga ennyo, Yezu ye Mwana wo, Ssanyu n’essuubi lyo Nkwejagidde! Ye yakutukuza, Ye yakubiibiita, Ye yakuwanngamya, kulika ggwe! |
3. | 3. Nnyabo ndi mwana wo, Ndi mu mikono gyo, Leero ne bulijjo Mpolereza! Ndiisa n’enneema yo, nzijuza eggezi lyo, Nnyamba n’amaanyi go, mpambaatira! |
4. | 4. Nnyabo omusaasizi, Ssuubi ly’aboonoonyi Nnyina Omulokozi, Nkwesize ennyo! Rooza ey’okwagala, Ddanga ery’okwekuuma, Ddembe lye nneegomba, nkwesize nnyo! |
By: M.H. |