Indirimbo ya 330 mu CATHOLIC LUGANDA
330. NNYAFFE YAMBA
Ekidd: | |
: Ggwe Nnyaffe Omuyinza – Ggwe Nnyaffe, Nnyaffe ow’ekisa, Ggwe Nnyaffe Omuyinza – Maria tuyambenga. | |
1. | 1. Bikira Maria Ggwe Nnyaffe omwagalwa Kuuma yamba ffe abaana bo. Bikira Maria Ggwe Nnyaffe omwagalwa Tuutuno tuyambe tuli baana bo. |
2. | 2. Bikira Maria Ggwe Nnyaffe omwagalwa Kuuma Uganda etebenkere. Bikira Maria Ggwe Nnyaffe omwagalwa Tusabire ensi eno etebenkere. |
3. | 3. Bikira Maria nga bangi abavuma Baagala eddiini mbu bagizise. Nnyaffe twagaze Kristu Omulokozi Taasa eddiini etinte. |
4. | 4. Bikira Maria Nnyaffe tusaba kino Tutaase endwadde etumalawo. Tusaba tuyambe Nnyaffe Ggwe ow’ekisa Tusabire tuyambe tuggwaawo. |
5. | 5. Bikira Maria Nnyaffe tukudaagira Twagaze Omukama tubeere babe. Obulamu nga bukomye obw’eno obw’ekiseera Tuwungule otutuuse mu bw’olubeerera. |
By: Fr. Expedito Magembe |