Indirimbo ya 334 mu CATHOLIC LUGANDA
334. SAASAANA BUNA ENSI
Ekidd: | |
: Saasaana buna ensi; Nnyaffe ow’ekisa Ekitiibwa kyo kituuse wonna: Nnabakyala Tukutenda Omuzadde w’Omukama: Ggwe Nnamukisa. | |
1. | 1. Nnamukisa Maria ow’ekisa Ye Ggwe Nnamukisa Maria tokirwa ” Nnamukisa Maria eyakkiriza ” N’ozaala Omwana eyandokola. ” |
2. | 2. Nnantalemwa omuyinza ow’ekitalo Oyo Yakukolamu ebirungi eby’amagero ” Weewaayo Maria wakkiriza ” N’ozaala Omwana eyandokola. ” |
3. | 3. N’oweebwa ekitiibwa eky’ekitalo Ye Ggwe N’oweebwa obuyinza n’emikisa ” Mu mazima ffenna otusukkulumye ” Mu mikisa Ggwe Nnyaffe Ggwe osinga. ” |
4. | 4. Njogera ku Nnyabo Omutuukirivu Oyo Gwe ntenda ye Eva owokubiri ” Nnakazadde Omukyala eyakkiriza ” N’ozaala Omwana Yezu. ” |
5. | 5. Nnamukisa Maria otweyagaza Ye Ggwe Tukweyune Ggwe Nnyaffe ow’omukisa ” Tukwesiga buvune onooyamba ” Tukweyunye era tukwekutte. ” |
By: |