Indirimbo ya 336 mu CATHOLIC LUGANDA

336. TUKUYIMBIRA GGWE NNYAFFE


1.(Fr. James Kabuye)
A.Tukuyimbira Ggwe Nnyaffe omuganzi,
Tukukulisa Ggwe eyazaala Katonda,
Tulikwekola ffe abaana otuyamba,
Toyabulira akwewa omukuuma,
Abawakanyi baggyeeyo ng’obagonza,
N’abaseerera ku ddiini bayambe,
Ng’obamatiza amazima, tobegaana ababuundabuunda,
Ensi Uganda laba ebonyeebonye nnyo,
Tunuulira entalo, endwadde n’obwavu
Bwe bibiindabiinda, tunadda wa Nnyaffe,
Obuzibu bweyongedde.
2.B. Mujje gye ndi ababonaabona…. ffe twesiga Lugaba,
Mujje gye ndi mbakubagize…… tutuuse ewa Nnyinimu.
b) Ku nsi bingi ebibonyaabonya….
Mujje gye ndi mbakubagize;
3.c) Mujje gye ndi mbaagala kufa….
Mujje gye ndi mbakubagize;
4.d) Mujje abakulu n’abavubuka….
Mujje gye ndi mbakubagize;
5.e) Mujje gye ndi n’abavubuka….
Mujje gye ndi mbakubagize;
6.f) Mujje gye ndi be njigiriza….
Mujje gye ndi mbakubagize.
7.C. Ddala kituufu tebawuliranga,
Tewali mu Uganda yaddukira gy’oli,
N’omugoba nga tomukkirizza.
Abakwesiga obayamba, obakuuma, obasiima, obawanguza
Mu byetaago, bali wagumu muzadde w’oli,
Abamenyese emitima obaagala,
Abakusaba amagezi obaagala, abalwadde n’abaavu obaagala,
Mu bizibu byaffe w’oli, w’oli Nnyaffe otuwanguza.
By:



Uri kuririmba: Indirimbo ya 336 mu Catholic luganda